Matthew 14:6-10

6Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. 7Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. 8Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” 9Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 10 aNe bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe
Copyright information for LugEEEE